Parliament egobye enteekateeka y’ekibiina Kya National Unity Platform NUP gyebadde ekoze okukyuusa obukulembeze bw’akakiiko ka parliament akalondoola ebisuubizo bya government,mwekibadde kisuulidde Dr Abed Bwanika ne Joyce Bagala ku bukulembeze bwakakiiko kano.
John Baptist Nambeshe nampala w’oludda oluvuganya government mu palament yassomye enkyuukakyuuka zino.
NUP ebadde eronze Joseph Gonzaga Ssewungu omubaka wa Kalungu west nga seentebe w’akakiiko n’omubaka omukyala owa district ye Wakiso Betty Ethel Naluyimba nga omumyuuka.
Wabula ababaka abawerako batadde omubaka Johnbaptist Nambeshe kunninga anyonyole kwasinzidde okukyuusa ababaka bano, n’alemwa okubamatiza, gyebigweeredde ng’enkyuukakyuuka zino zigobeddwa.
Wabaddewo besigamye ku by’okulabirako enkyuukakyuuka ezifananako bwezityo bwezizze zigobwa.
Kinnajjukirwa nti NUP bweyayagala okugoba omubaka Ojara Mapenduzi ku bukulembeze bw’akakiiko akalondoola ensaasaanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo mu government parliament era yazigoba.
Ababaka Dr Abed Bwanika ensangi zino takyaalinnya mu kimu n’obukulembeze bwekibiina ki National Unity Platform olwenkola y’rkibiina kino eyemirimu, Omubaka Dr Abed Bwanika gyagamba nti ejjuddemu obwannakyeemalira, obwannantagambwako n’okuddukanya ekibiina mu ngeri etagoberera mateeka
Akakiiko Kano akalondoola ebisuubizo bya government obukulembeze bwaako bwa myaka 2 n’ekitundu, era nga Dr Abed Bwanika ne Joyce Bagala NUP yabalonda emyezi 5 egiyise.
Joseph Gonzaga Ssewungu yeyali omumyuuka wa sssntebbe wakakiiko kano nga yali amyuuka Betty Nambooze Bakireke omubaka wa munisipaali ye Mukono okumala emyaka 2 n’ekitundu egiyise.#