Ba kansala abakunukkiriza mu 20 abakiika ku lukiiko lwa Kampala, bebagambibwa okuba nga baasuulawo emirimu gyabwe nebagenda mu mawanga amalala okukuba ekyeyo, wadde ng’ekisanja kyabwe kyali tekinagwako.
Embeera eno egulumbya abakulembera olukiiko lw’ebyobufuzi n’olw’ekikugu mu KCCA, oluvanyuma lwaba kansala bano okuddukira mu kooti nga bawakanya eky’okuyimiriza okubasasula omuamsaala gwabwe.
KCCA erina ba kansala 53 abaalondebwa wabula kitegerekese nti ba kansala abali eyo mu 20 baasuulawo emirimu nebadduka eggwanga.
Kigambibwa nti ebyeyo baagenda kubikubira mu Canada ne America, ng’okuva lwebaalondebwa eby’okukiikirira abalonzi baabisuulawo, wabula nga babadde bakyasasulwa omusaala, okutuusa KCCA lweyaguyimiriza.
Mayor wa Kampala Ssaalongo Elias Lukwago agambye nti kituufu batubidde n’ensonga Eno ng’abakulembeze ba KCCA.
Ssaalongo Elias Lukwago agambye nti emikono gyabwe ng’abakulembera KCCA misibe ku nsonga eno, okutuusa nga kooti esazeewo ekiddako.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif