Eggye lya UPDF likakasizza nti omusirikale eyakubwa amasasi mu bitundu bye Buddo ku Tuesday nga 23 July,2024, yali yadduka mu magye nga ye Private Ekirap Lawrence.
Omwogezi wa UPDF ow’ekibinja ekisooka Maj.Charles Kabona agambye nti Ekirap yadduka ku mulimu nga taweereddwa lukusa, era n’alaangirirwa nti yali adduse mu magye nga 17 May,2024, era nti abadde takyabalibwa muggye lya ggwanga.
Ettemu lino lyaliwo ku ssaawa nga bbiri ez’ekiro, omusirikale ono bweyakubwa amasasi mu mmotoka ya buyonjo Toyota Progress No. UAK 375 U naafiirawo, amalala negakwata omukyala Evelyn Zaria Nalumansi Kironde.
Police n’amagye gakyanoonyereza ku byavuddeko ettemu lino, nga kigambibwa nti byandiba nga byabaddemu ebya ddiiru.