Oluguudo Nneebalamye Mayanja, Ssaabataka Sseggwanga Musota Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II kweyayita okutuuka e Nnaggalabi, Buddo mu ssaza Busiro bweyali agenda okutikkirwa.
Oluguudo luno lutandikira Sseguku nerugguka e Buddo.
Munnabyafaayo Mukasa Kafeero Nnabe,agamba oluguudo luno luliko ensonga nnyingi ezirutaambulirako, mu nteekateeka z’amatikkira.
Ku luguudo luno kuliko ekitundu ekiyitibwa Katale, era wano wewaalinga omuwafu ogwakolanga akatale, Ssaabataka ayimirirawo nebamusibirira ebyokulya, nga yetegekera olutalo lw’ebirumbirumbi.
Ku luguudo luno Nneebalamye Mayanja kuliko ekyalo Kikajjo, wano Ssaabataka waggya ekikajjo ky’agenda nakyo nga yetegekera olutalo. Ab’ekika ly’engabi bebakola omulimu gw’okutema ekikajjo ekyo nebakimukwasa.
Ate ku kyalo Kasenge ekiri ku luguudo luno lwe lumu, Ssaabataka wakyusiza engoye z’abeera agyiddemu naawebwa endala, era omukolo guno gukolebwa ab’ekika ky’Ekkobe, olwo naayolekera Naggalabi Buddo gy’atuuzibwa ku Nnaamulondo.
Ssaabaaajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yatuula ku Nnamulondo ya Bajjajjabe nga 31 July,1993, naafuuka Kabaka wa Buganda owa 36.
Emyaka kati giweze 31, Nnamunswa Nnyinimu mwali alamula Obuganda.
Emikolo gy’amatikkira egy’omwaka guno 2024 gigenda kuyindira ku lutikko e Namirembe.
Omulamwa gw’emikolo gy’omwaka guno gugamba; Obumu bwaffe, ge maanyi ga Nnamulondo.#