President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museven yeweredde bannayuganda n’abakulembeze b’ebyobufuzi abametta Uganda enziro mu mawanga g’abazungu nti n’ekigendererwa eky’okubawa ebitole by’emmere n’engule saako omusimbi, agambye nti government ye ebamanyi bulungi era egenda kufaafagana nabo.
Gyebuvuddeko America ne Bungereza baalangirira envumbo ku sipiika wa parliament Anita Among neba minisita abatali bamu, wabula Omukulembeze w’ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu nategeeza nti bebeekubira omulanga eri abazungu okussa envumbo ku bantu abo mu kaweefube w’okulwanyisa enguzi mu ggwanga.
Museveni asinzidde ku kisaawe kyameefuga e Kololo mu kwogera kwe okutongole eri eggwanga, n’agamba nti government ye ye okusirika tebalowooza nti tebamanyi bigendererwa byabantu abo, era abeeweredde nti bagenda kufafaana nabo.
Museveni azeemu okwewerera abalyi benguzi mu ggwanga nti bano abamanyi bulungi era agenda kubakolako, wabula ate n’alabula abazungu nti bakome okulowooza nti bebaggya okuyigiriza government ye okulwanyisa enguzi.
Museveni abuulidde eggwanga nti government ye, emanyi bulungi nnyo engeri y’okulwanyisaamu enguzi era nti tagenda kubeera wakisa eri balyi ba nguzi, nti kubanga bulijjo abadde awulira mpulire mu ngambo, naye kati yazudde gyesibuka n’esaasaanira ebitongole bya government ebirala.
Amenye n’ebimu ku bitongole ebifumbekeddemu obulyi bwenguzi okuli ministry y’ebyensimbi gyagambye nti abakozi mu ministry eyo bakolagana ne parliament okubulankanya ensimbi z’eggwanga, abalyaake abalala agambye nti bali mu offiisi yobwa President bagambye nti baggya ensimbi ku bantu nti okumulaba n’okubakolera ku nsonga ez’enjawulo.
Mu ngeri yeemu Museveni era atenderezza sipiika Anita Among olwenkolagana gyataddewo n’amasiga ga government amalala okuli essiga effuzi n’essiga eddamuzi, enkolagana gyagambye nti evuddemu ebibala naddala mu kuteekateeka embalirira y’eggwanga.
Museveni asinzidde awo, nagugumbula abawalampa sipiika nti olwokuba akolagana n’essiga effuzi, agambye nti abalina endowooza efanaanana bwetyo ekibalo kyabwe kiffu nnyo.
Mu birala president byayogeddeko, alagidde ministry y’ebyensimbi egonjoole ekizibu ky’abawozi b’ensimbi abadduumula amagoba ku nsimbi ezewolebwa eziremesezza bannansi bangi okukulakulana.
Ku nsonga y’ebyenfuna by’eggwanga w’ebiyimiridde, Museveni agambye nti wakati mu kusoomozebwa eggwanga kweriyitamu , ebyenfuna byeggwanga bikula ku sipiidi yawaggulu.
Asabye ebasuubuzi okweyambisa emikago gy’amawanga ga Africa naddala ogwa COMESA okuganyulwa n’okutumbula eby’ensuubulagana by’amawanga, nti kubanga ekimu ku byagutondesaawo kwekutumbula eby’amaguzi bya Africa era gutegeera bulungi ebizibu by’abaddugavu.
President agambye nti bannauganda bwebaba baagala okugaggawala balina okuba nga beyagala era nga baagaliza n’abalala, era nga kyekiva kibakakatako okwagala Uganda ne Africa okutwaliza awamu, ate bewale n’okusiga obukyayi n’enjawukana mu mawanga.
President Museven ku mukolo guno awerekeddwako mukyala we era minister w’ebyenjigiriza Janet Kataha Museven.
Mu kusooka sipiika wa parliament Anita Among aguddewo olutuula lwa parliament luno president lwayogereddeko eri eggwanga mu butongole, era neyebaza president olw’okubalambika obulungi mu buweereza bwabwe, n’okubeera eky’okulabirako gyebali.
Wadde ng’aboludda oluvuganya government abasinga obungi tebalabiseeko nga bakulembeddwamu omukulembeze wabwe Munna NUP Joel Ssenyonyi, sipiika ategeezezza president nti wadde Ssenyonyi tabaddeewo nti naye abadde agoberera bulungi buli ekigenda mu maaso ng’ayitira ku mutimbagano wamu n’ababaka abalala naddala ab’oludda oluvuganya abaazize okwetaba mu lutuula luno olubadde e Kololo era n’obutebe bwabwe bubaddewo nga bukalu,