Eyaliko akulira oludda oluvuganya government mu Parliament Omubaka wa Nyendo – Mukungwe, era Commissioner wa Parliament munna NUP Mathias Mpuuga Nsamba ategese okusaba okwenjawulo okwokwebaza Katonda olw’obuweereza bwatuseeko ku mitendera egyenjawulo, okuva mu kibiina kya Nkobazambogo obumuwadde emisingi egimufudde munnabyabufuzi ow’ensonga.
Okusaba kuno akutegekedde ku kisaawe kya Kitovu sports Arena mu Masaka City, nga kukulembeddwamu Musonyooli John Baptist Ssebayigga, nga akwetabiddwako bannaddiini bangi ddala, Ab’ebitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda, ababaka ba parliament ne bannabyabufuzi ku mitendera egyenjawulo.
Musonnyooli Ssebayigga agambye nti okwebaza Katonda kikolwa kya kitiibwa, nti kubanga omuntu atajjukira gy’avudde nebyatuseeko era ng’abisiima tasobola kwebaza.
Obwakabaka bwa Buganda bwebazizza Owek. Mathias Mpuuga Nsamba olwobuwereza bwe eri Namulondo n’obutatelebuka ku nsonga z’Embuga .
Mu bubaka bwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bwatisse Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro Owek.Robert Waggwa Nsabirwa, agambye nti Mpuuga ebbanga lyonna ng’aweereza obwakabaka abadde muwulirize eri Kabaka we era alwaniridde nnyo enkulakulana ya Buganda era abadde ekyokulabirako eri abakulembeze abalala.
Owek. mpuuga yaliko omukulembeze mu kibiina kya Baganda Nkobazambogo ku University e Makerere, yaliko minister wa Buganda ow’abavubuka, yali mukiise mu lukiiko lwa Buganda, yatuula ku bukiiko obwenjawulo.
Katikkiro agambye nti Mpuuga bw’abadde akulira oludda oluvuganya government mu parliament emirimu yagitambuliza mu kifaananyi kyebyo ebiyamba omuntu wa bulijjo era ebyetaaga government okutereeza, era ne Buganda eganyuddwa mu buweereza bwe.
“Muzzukulu wa Nsamba Mathias Mpuuga bweyasalawo okwesogga eby’obufuzi mu 2011, saasooka kukyagala nga ndaba akyali muto nnyo, kyokka obukiise bwe mu parliament busoosoowazizza nnyo ebyetaago by’omuntu wa bulijjo” -Katikkiro
Agambye nti Owek. Mpuuga bweyali minister omubeezi ow’Abavubuka mu Buganda, ate nebwabadde mu by’obufuzi mu bbanga lino lyonna teyegaanangako Nnamulondo.
Katikkiro agambye nti ettoffaali Mpuuga lyatadde ku nkulaakulana y’eggwanga nti teribuusibwabuusibwa.
Omutaka Nsamba Lukonge Lubega Alosius Magandaazi ow’akasolya k’ekika ky’e Ngabi, asabye abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okufaayo okuwuliriza abantu abalala bebakulembera nabo, nga bakulembeza obuntu bulamu.
“Tewali muntu atayagala masannyalaze, naye singa amasannyalaze gafuuka ag’obulabe eri ebintu ebigeetoolodde gabeera goolekedde okukeendeezebwa” – Omutaka Nsamba .
Owek . Mathias Mpuuga Nsamba alangiridde nti siwakulekayo okukwatagana n’abakulembeeze abassa ekitiibwa mu birowoozo by’abalala mu lutalo lwaliko okukyuusa eggwanga.
Mpuuga asuubizza nti tagenda kukoowa mu lutalo luno, nti kubanga bingi byayiseemu ebyandibadde bimutiisa, omuli okujolongebwa mu mbeera zonna, okumulyamu olukwe n’ebirala, nga bikolebwa abantu beyali ayita ababe.
Agambye nti mu kiseera ekitali kyewala agenda kutalaaga eggwanga lyonna okukunga bannauganda okukulembeza obumu, ku lw’enkulakulana ye ggwanga.
Mpuuga agamba nti ebbanga lyamaze mu bukulembeze aliko ebintu bingi byayize omuli okuwuliriza bakulembera, okwetegereza ensonga, okwawula engambo ku bigambo, amakulu g’okuwabulwa , enkwe n’ebirala.
Omubaka wa Busiro East Owekitiibwa Madard Lubega Ssegona awabudde nti ebibiina byobufuzi bitekeddwa okuzannya obyobufuzi awatali kutiisatiisa bantu kubanga waliwo obulamu obusukka kuby’obufuzi ne ticket eziweebwa abagenda okwesimbawo.
Sseggona agambye nti akimanyi bulungi nti eby’obufuzi eby’okusiiga enziro bizze bikozesebwa bannabyabufuzi aberowoozaako bokka na bokka, nagamba nti kye kimu ekyatuuse ku nsimbi obukadde 500 ezaweebwa Owek. Mpuuga ng’akasiimo ka commissioner wa Parliament, era nga zaayisiba parliament.
Agambye nti ensimbi ezo ezagabanyizibwa ba Commissioner ba parliament era bonna nebazifuna, bweziba nga zaali nkyamu, parliament yonna evunaanyizibwa kyenkanyi, sso ssi kuzinenyeza muntu omu.
Ba Kamisona ba Palamenti okuli Solomon Silwany , Prossy Mbabazi Akampulula ne Esther Afoyochan bategeezezza nti okusoomozebwa okuliwo bebooludda oluvuganya government abalina enkola etemera ettaka ku bantu babwe ababeera batandise okututumuka, nti enkola eno ezze eby’obufuzi by’eggwanga emabega, olwa government eri mu buyinza okubulwa bannabyabufuzi ab’embavu ku ludda olulala abagiteeka ku bunkenke.
Omukolo guno abataka abakulu abobusolya, ba Minister ba Kabaka , Abaami ba Masaza , baminister mu government eya wakati.
Kubaddeko bannaddiini, ababaka ba Parliament, ba nnabyabufuzi okuva mu bibiina ebyenjawulo n’abantu abalala bangi.