President wa Kenya William Ruto ayimirizza eby’okussa omukono ku tteeka eribadde lifuuse nattabula, era nga libaddemu emisolo emiggya egireetebwa.
Etteeka lino alizizzaayo eri parliament liddemu lyekenneenyezebwe.
President Ruto okusalawo bwati, kivudde ku kwekalakaasa okubadde kumaamidde Kenya okumala ennaku eziwerako nga kukulemberwamu abavubuka abeeyise aba GEN-Z , era nga kwasooka kubeera kwa mirembe.
Oluvannyuma lw’ennaku okwekalakaasa kwetobeseemu effujjo n’okwonoona ebintu saako okulumba parliament ya Kenya nebajikumako omuliro n’ebizimbe ebirala okuli ekya Uganda House wabula neguzikizibwa mu bwangu.
Abantu 6 baakakasiddwa nti bafiiridde mu kwekalakaasa kuno, ng’abavubuka bagamba nti government esusse okuteekawo emisolo emingi, so ng’emirimu gyabbula tebateerawo mirimu, olwo aberwanako okwetandikirawo egyaabwe nebanyigirizibwa emisolo.