President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni ayanukudde bannauganda abamu abagala omuwendo gwa parliament okukeendezebwa, agambye nti tekikyasoboka kubanga constituency zitondebwawo lwa nsonga.
Parliament ya Uganda mu kiseera kino erimu ababaka abalondebwa obutereevu mu kalulu 529.
Wabaddewo amaloboozi okuva mu bantu nti omuwendo gw’ababaka gukendeezebwe, okukendeeza ku nsaasaanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo, parliament zesaasanya ku babaka.
President Museveni asinzidde mu kitebe lya NRM ku Kyaddondo road mu Kampala ,bannaNRM webasinzidde okukungubagira munnaabwe Simon Peter Aleper eyabadde omumyuuka wa ssentebbe wa NRM atwala ekitundu kya Karamoja, yafiiridde mu kabenje kemmotoka e Iganga.
President agambye nti ekyokukendeeza omuwendo gw’ababaka ba parliament bakiviireko ddala, okugyako kyayinza okuwuliriza kwekukendeeza ku musaala ogusasulwa ababaka.
Museveni awadde ekyokukabirako ekya Constituency ezimu mu bendobendo lya Karamoja, zagambye nti government yazitondawo lwa nsonga, okumalawo obutakaanya mu bantu b’ekitundu ekyo.
President Museveni atenderezza nnyo Omugenzi Simon Peter Aleper olwokukolera ekitundu Kya Karamoja, ky’agambye nti olw’amaanyi ge, bingi government ya NRM byetuseeko mu kitundu kye Karamoja omuli okutereeza obutebenkevu, amakolero agaleseewo enkulakulana n’ebirala.
Aleper y’abadde amyuka ssentebe wa NRM atwala ekitundu kye Kalamoja, era nga yaliko omubaka, mu parliament ey’ 8 ne 9, ow’ekitundu kye Morroto municipality.
Aleper yafudde ku monday nga 22 July, wakuziikibwa ku Tuesday nga 30 July,2024.#