Omusibe Omu yattiddwa abaserikale b’Ekitongole ky’Amakomera mu ggwanga, oluvannyuma lw’Okugezaako okutolokera mu biseera by’ennaku enkulu ez'amazaalibwa ga Kristu, n'okumalako omwaka. Omugenzi ye Ronald Turyamureeba wa myaka 26, yakubwa Amasasi agaamuggya...
Government erangiridde nti eri mu nteekateeka ezizaayo eri parliament ennoongosereza mu mateeka agafuga eby'ettaka mu Uganda, okuggyawo emiziziko government gyebadde esanga mu kufuna ettaka okusaako project zaayo. Minister omubeezi ow'ebyensimbi...
Akakiiko ka Uganda Law council kyaddaaki kawadde ebbaluwa ey'ekiseera eri munnakenya, era munnamateeka Martha Karua emukkiriza okugenda mu kooti awolereze munna FDC Dr. Kiiza Besigye ne Hajji Obeid Lutale. Mu...
Prof.Vincent Kakembo atuuziddwa nga Vicechancellor wa Muteesa I Royal University, ku kisanja kye ekyokubiri ng'akulembera University eno. Ekisanja ekisooka eky'emyaka 5 ekisooka kyaweddeko mu November,2024. Atuuziddwa ku matikkira ga University...
Ssentebe w’omukago ogutaba enzikiriza mu ggwanga ogwa Inter-Religious Council of Uganda, (IRCU), era Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Uganda, The Most Rev Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu, alabudde abazadde n'abalala abakwatibwako ensonga,...
Ekitongole ekivunanyizibwa ku bibalo n'emiwendo ekya Uganda Bureau of Statistics, (UBOS), kifulumizza alipoota eyenkomeredde eraga ebyava mu kubala abantu omwaka oguwedde 2024, nga banna Uganda abasoba mu kakadde kamu nekitundu...
Ebintu ebitannamanyika muwendo bitokomokedde mu nnabbambula w'Omuliro akutte Ennyumba z'Abantu ku kyalo Lokwamoru mu gombolola ye Lorengedwat mu district ye Nabiratuk e Karamoja. Omuliro guno ogukutte ku ssaawa musanvu n'ekitundu...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naggulirawo Abantube Omwaka 2025 mu Lubiri lwe e Mengo, mu bweesedde n'Obweesedde bw'Abantu abajjumbidde Enkuuka Masavu 2024. Empologoma mu bubaka bwayo yebazizza abantu...