Ababaka ba parliament basazeewo buli omu okuwaayo shillings emitwalo 300,000, baweze obukadde nga 150 n’okusoba, zigende eri family y’abadde omubaka wa Kawempe north Mohammad Ssegiriinya zibayembeko okutambuza obulamu.
Ensonga Eno esaliddwawo mu lutuula lwa parliament, ababaka mwebasiimidde omubaka Ssegiriinya olwa byonna byakoze mu bulamu.
Okusaba ababaka okwesondamu ensimbi kwanjuddwa omubaka omukyala owa district ye Butambala Aisha Kabanda.
Aisha Kabanda agambye nti Omubaka Ssegirinya abadde mpagi Luwaga kale nti okuvaawo kwe kkonde ddene nnyo eri abantu be nga betaaga okukwasizaako.
Sipiika Anita among ne minister w’amawulire, tekinologiya n’okulungamya eggwanga beeyamye okuweerera abaana b’omugenzi.
Commissioner wa parliament Owek Mathias Mpuuga Nsamba atenderezza omubaka Ssegiriinya gwayogeddeko nti yerandizza yekka okutuuka wabadde ng’omubaka wa parliament, wabula akukkulumidde bannabyabufuzi abaatandiika edda okulamuza ekifo kya Kawempe North omubaka wabeeredde nga mulwadde.
Abakulembeze bakabondo kababaka abava mu buganda okuli ssentebbe waako Mohammed Muwanga Kivumbi ne ssabawandiisi waako Patrick Nsanja batenderezza omugenzi Ssegirinya olwobuvumu, n’obuteetiiririra.
Omubaka Patrick Nsanja awabudde abooluganda lw’omugenzi Ssegiriinya obutakemebwa kusimbawo wa Luganda mu kifo Kya Kawempe North, wabula baleke bannakawempe beesalirewo.
Ababaka okutwaliza awamu bateenderezza Omugenzi Mohammad Ssegiriinya olw’okwerandiza okuva ewabi okutuuka ku ddaala eryeyagaza.
Omubaka omukyala owa district ye Tororo Sarah Opendi yebaziza Omugenzi olw’omutima omugabi gwabadde nagwo, era ng’abadde ayamba abantu bangi abali mu bwetaavu.#
Bisakiddwa: Nnaabagereka Edith