Eddwaliro ly’e Lubaga mu butongole lifulumizza ekiwandiika ekikakasa nti omubaka wa Kawempe North Ssegiriinya Muhammad afudde ku ssaawa mukaaga n’eddakiika kkumi.m nga 09 January 2025.
Amawulire ga Ssegiriinya gasoose kufuluma ku makya nga zisemberera okuwera essaawa ssatu, wabula oluvannyuma abasawo nebategeeza nti wadde ebitundu by’omubiri ebisiinga obungi byabadde bisirise, naye yabadde akyalinamu entunnunsi ezikuba, zebaabadde bakyalondoola nga bakozesa ebyuma.
Wabula oluvanyuma entunnunsi zonna zisirise, era eddwaliro nerimubika nti afudde mu ttuntu ku ssaawa mukaaga nga kuyiseeko eddakiika kkumi.