Parliament wamu n’Aboluganda lw’Abadde Omubaka wa Kawempe North Sseegirinnya Muhammad wamu n’Abakulembeze mu National Unity Platform bafulumizza entekateeka y’okumuziika.
Ssegiriinya avudde mu bulamu bw’ensi nga 09 January,2025 mu ddwaliro e Lubaga, ku myaka 37 egy’obukulu.
Parliament ewaddeyo akaseera ak’okusiriikirira, ababaka okujjukira omugenzi Ssegiriinya Muhammad.
Sipiika wa parliament Annet Annita Among agambye nti omugenzi wakutwalibwa mu parliament enkya nga 10 January,2025, mu lutuula olw’enjawulo okijjukira ebirungi byakoledde eggwanga.
Okusinziira ku president w’Ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu , omugenzi Ssegiriinya wakuziikibwa ku Sunday nga 12 January,2025 ku kyalo Kaddugala ekisangibwa mu district ye Masaka mu Buddu.
Bagenda kumukungubagira ku kitebe ky’ekibiina kya National Unity Platform e Kavule olwaleero.
Omubiri gw’Omubaka Muhammad Ssegiriinya gutwaliddwa mu Maka ga A Plus funnel services e Mengo.#