Kooti ewuliriza emisango gy’obukenuzi n’obulyake eragidde eyali minister omubeezi ow’ensonga ze Kalamoja Agnes Nandutu agende yewozeeko ku bigambibwa nti yoomu ku beekomya amabaati agaali galina okuweebwa abawejjere e Kalamoja.
Omulamuzi Jane Okuo Kajuga agambye nti oludda oluwaabi lwaleese obujulizi obulaga nti eyali minister yafuna eminwe gy’amabaati 2000 wakati wa June ne July 2022, okuva mu wofiisi ya Ssaabaminister.
Omwaka oguyise 2024, ba minister 3 baaggulwako omusango gw’okwekomya amabaati agaali galina okuweebwa abawejjere be Kalamoja, okuli minister omubeezi ow’okuteekerateekera eggwanga Amos Lugoloobi, kooti gweyalagira naye okutandika okwewozaako.
Eyali minister w’e Kalamoja Mary Gorret Kitutu ogugwe gukyalinzeeko, oluvannyuma lw’okusaayo omusango omulala mu kooti ng’agamba nti yatulugunyizibwa bweyali akwatibwa ku misango gy’amabaati.
Kooti ewulira emisango gy’obukenuzi n’obulyake etaddewo olwa nga 19 February,2025 eyali minister Agnes Nandutu atandike okwewozaako.
Bisakiddwa: Betty Zziwa