Police mu district ye Mityana ne Kassanda eriko abantu 9 bekutte neggalira mu buduukulu bwayo obwenjawulo kubigambibwa nti balina kyebamanyi ku ttemu erizze likolebwa ku bantu n’okubanyagako ebyabwe.
Obulumbaganyi obubadde bwakasembayo bwaliwo ng’ennaku z’omwezi 3 January,2025 mu bitundu bye Kalangaalo, abampembe bano baalumba ekyalo nebatemula abawerako kwossa n’okunyaga ensimbi enkalu eziri eyo mu bukadde.
Abakwate kuliko Sseguya Ivan, Godfrey Agaba, Kizza Simon, Tulyahebwa Nicholas, Umar Kayemba n’abalala.
Ayogerera Police mu bitundu bya Wamala SP Rachel Kawala agambye nti baasooka kukwatako omuzigu omu, ng’ono yeyabayambye okubatuusa ku banne abalala 8 era ng’abamu baa bakwatidde Nansana mu Wakiso.
Kawala agambye abakwate bakkirizza nti ddala kituufu babadde banyagulula amayumba n’okutta abantu, era nga bagenze babamenyera amayumba gebazze banyagulula wakati wa November,2024 ne January,2025.
Balindiridde kusimbibwa mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe emisango egyiwerako okuli obubbi, obutemu kwossa n’obuliisa maanyi.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi