Obutafaanano nga bulijjo, Ssaabaminister w’eggwanga oba omumyuka we nga yayanjula ekiteeso ekisiima Omubaka yenna abeera afudde, omulundi guno ekiteeso kino kyanjuddwa omubaka wa Bugweri Abdu Katuntu, olwa saabaminister oba abamyuka be obutabaawo.
Omubaka wa munisipaali ye Bugiri Asuman Basalirwa yemulugunyiza olwa government okwesamba olutuula luno, n’agamba nti nti kabonero kabi nnyo eri parliament.
Wabula oluvannyuma omumyuka ow’okusatu owa Ssaabaminister Lukia Nakadaama atuuse neyetonda era n’ategeeza nti naye abadde mulwadde.
Katuntu ayogedde ku mubaka Ssegiriinya ng’omuntu abadde omuvumu mu byakkiririzaamu eyatandiikira mu nfuufu omukama namulinyisa eddaala olw’okwewaayo,okwekkirizaamu n’obuvumu.#