Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye bannaddiini obutakoowa kukuumira Uganda mu Ssaala, naddala eri Obukulembeze ku mitendera egyenjawulo ,ebyenfuna n’Obutebenkevu.
Abadde yeetabye ku mukolo Ababiikira 20 kwebakubidde ebirayiro eby’olubeerera.
Babikubidde ku Nnyumba enzadde e Bwanda Kalungi mu Ssaza lye Masaka.
Katikkiro agambye nti obuntubulamu bwongedde okusimuuka mu bamu ku bakulembeze, nga betaaga essaala.
Katikkiro yebazizza Abasisita olw’Okwewaayo okusukkiridde , naasaba abantu ba Katonda balabire ku mbeera y’Okweeresa n’Okweerumya ku lw’abalala.
Omusumba w’Essaza lye Masaka Serverus Jjumba y’Agasse Abagole ababiikira era n’abanaanika Empeta nga asinziira ku Nyumba Enzadde.
Asabye abajaguza okubeera abalyoowi b’Emyooyo nga batuusa ekigambo kya Katonda eri Abanaku, Abetaavu, Abatulugunyizibwa mu Maka ,wamu naabo abagagga mu byensi Ssonga mu Mwoyo banaku
Sister Deodata Nalukwaago ku lw’Ababiikira abajaguzza emyaka 25, 50, n’emyaaka 60, asabye abeegasse ku kibiina ky’Ababiikira okukuuma ebirayiro.
Sister Noelina Namusoke nga ye Nankulu w’Ekibiina kya Bannabiikira be Bwanda ,asabye Ababiikira okwewa Omukama ,n’Okujjukiranga ebirayiro byebaakuba.
Abamu ku bajaguzza emyaka 60 egyobubiikira kuliko sister Maria Credonia Justine Nandawula, Peter Canisius Tereza Bukirwa, Gerardiina Nalikka, sister Gerald Stephen Philomena Nanyonjo, Philip Neri Maria Nsigadde, Mary Immaculate Nalunga.
Abajaguzza emyaka 25 kubaddeko sister Immaculate Kyampeire ,Restituta Kaita, Juliet Nanyonjo ,Jane Frances Nassiwa n’abalala.
Bisakiddwa: Kato Denis