Abadde omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya avudde mu bulamu be’ensi mu ddwaliro e Lubaga mu Kampala.
Ssegiriinya yaliko kansala mu lukiiko lwa KCCA ng’akiikirira Kawempe okuva mu 2016 okutuuka 2021.
Mu kalulu ka bonna aka 2021 yesimbawo ku kaadi ya National Unity Plartform naalondebwa ng’omubaka wa.Kawempe North.
Wabula nga wakayita emyezi mibale, yakwatibwa ne mubaka munne owa Makindye West Allan Ssewannyana, government nebaggulako emisango gy’okukulembera ekitta bantu ky’ebijambiya ekyabalukawo mu makati g’omwaka 2021 mu bitundu bye Buddu.
Ku alimanda baamalayo omwaka mulamba n’ekitundu,oluvannyuma nebayimbulwa.
Ebbanga lyonna Sseggirinya lyeyamala.mu kkomera embeera y’obulamu bwe yagenda esereba, era okuva obulamu bwe obusinga abumaze mu malwaliro.
Ajjanjabiddwa mu malwaliro agawerako wano mu Uganda, Mu Aghakhan hospital e Nairobi Kenya,mu UMC Hospital mu Amsterdam e Netherlands n’awalala.#