Ebikumi nébikumi byÁbakungubazi,bannabyabufuzi , bannaddiini ,abasuubuzi n’abalala bikuηaanidde ku kitebe ky’ekibiina kya National Unity Platform e Makerere Kavule, okukungubagira abadde Omubaka wa parliament owa Kawempe North Muhammad Ssegiriinya avudde mu bulamu bw’ensi.
Mu kwogerako eri abakungubazi Omukulembeze wÉkibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu ategeezezza nti Omugenzi embeeraye okwonooneka kyava ku kusibwa mu kkomera nÓkutawaanyizibwa okwenjawulo kwazze asisinkana mu by’obufuzi.
Lord Mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago ategeezezza nti Omugenzi yoomu ku babaka ba parliament abakoleredde abantu babwe, kyokka nga tebalina kyebafunye, naasaba Obulamu bwa Ssegirinnya bubeere ekyokulabirako eri abaweereza mu bitongole ebyenjawulo.
Abakulembeze abalala aboogedde ku mubaka Ssegirinnya bamutenderezza olwobukozi nÓkwagaliza abantu baabadde akiikirira.
Muhammad Ssegirinnya wakuziikibwa ku kyalo Kaddugala mu district ye Masaka ku Sunday nga 12 January,2025.