Ensonga za kasasiro zizeemu buto okusitula enkundi mu district ye Wakiso, ng’abakulembeze banenya KCCA okumala gamansa kasasiro mu Wakiso ekigenda okuviirako endwadde okubalukawo.
Akakiiko ka district akavunaanyizibwa ku nsonga z’obutonde wamu n’abakulembeza abalala basiibye batalaaga ebifo omuyiibwa kasasiro mungeri etagoberera mateeka.
Ebitundu bino biri mu town council ye Kyengera , Nkumba, Katabi nawalala.
Ssentebe wakakiiko koobutonde bw’ensi era ye mubaka omukyala owa district ye Wakiso Betty Ethel Naluyima agamba nti bakoze kyonna ekisoboka okutuukirira KCCA ku ngeri y’okugonjoolamu ensonga ya kasasiro nga buteerere.#