Government okuyita mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kulwanyisa mukenenya ekya Uganda Aids Commission eweerezza obupiira bu gali mpitawa obusoba mu bukadde 30 okwetoloola ebitundu by'eggwanga ebyenjawulo, ngomu ku kawefube wokulwanyisa mukenenya...
Abagoba ba bodaboda 2 bafiiriddewo mbulaga n'abalala basatu bali mu mbeera mbi, mmotoka kika kya Subaru No.UBH 187Z ebasaabadde. Abatomeddwa mmotoka babadde.basimbye ku siteegi webakolera e Katwe mu Kampala, katwe...
Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere ayagala government mu kaseera kano ak'ennaku enkulu n'okumalako omwaka eddiremu era eyimbule abaasibwa olw'ebyobufuzi badde mu bantu babwe. Bino abisabidde mu bubaka bwe...
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni alagidde eggye ly'eggwanga erya UPDF lizuukuse era lisindiike abasirikale abakuuma byalo abamanyiddwanga Local Defence Unit ,LDU mu bitundu ebiriraanye ekuumiro ly'ebisolo erya Queen Elizabeth...
Wabaddewo obunkenke mu kitundu ekimanyiddwa nga mu Kinyarwanda mu Akright estate Kajjansi town council mu Wakiso, amasasi gamyoose okumala akaseera omusirikale bwavudde mu mbeera n'asasira banne 3 amasasi omu gamuttiddewo....
Abantu babiri bakakasiddwa nti bafiiridde mu muliro ogwakutte akatale ka Wabiduuku mu zone ya Balimtuma ku kyalo Kiwaatule mu gombola ye Nakawa Kampala. Omuliro guno kiteberezebwa nti gwavudde ku bibbaawo ebisangiddwa...
Omuntu omu atemeddwatemeddwa naafa ate abalala 3 bafunye ebisago eby'amaanyi, mu lutalo lw'ettaka ku kyalo Kibaale mu muluka gwe Kigumba mu ggombolola ye Maddu mu district ye Gomba. Okusinziira ku...
Omuliro gusaanyizaawo ebintu by'abasuubuzi mu katalr akamanyiddwa nga Wabiduuku e Kiwaatule mu gombolola ye Nakawa mu Kampala. Omuliro gukutte obuyumba bw'abasuubuzi obubadde bwazimbibwa okumukumu okumpi n'ettaawo ly'oluguudo oluva e Ntinda...