Abagoba ba bodaboda 2 bafiiriddewo mbulaga n’abalala basatu bali mu mbeera mbi, mmotoka kika kya Subaru No.UBH 187Z ebasaabadde.
Abatomeddwa mmotoka babadde.basimbye ku siteegi webakolera e Katwe mu Kampala, katwe okuliraana Hotel ya Kagujje ku Mutebi Road.
Kigambobwa nti makanika y’abadde agivuga ng’ajigezesa alabe oba byakanise biteredde kwekumulemerera, nayingirira abantu era olutegedde nti abasse emmotoka nagyibuukamu nadduka.
Ababaddewo ng’akabenje kagwawo basabye ab’ebyokwerinda babagambire ku bavuzi b’emmotoka ya Subaru naddala abavubuka nti kubanga basuse okuzivugisa kabampaane naye nga bamalawo obulamu bw’abantu
Police ye Katwe emirambo egigyewo n’egitwala mu ddwaliro okwongera okwekebeggyebwa.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif