Abantu babiri bakakasiddwa nti bafiiridde mu muliro ogwakutte akatale ka Wabiduuku mu zone ya Balimtuma ku kyalo Kiwaatule mu gombola ye Nakawa Kampala.
Omuliro guno kiteberezebwa nti gwavudde ku bibbaawo ebisangiddwa mu kifo ekyo, ne gusasanira akatale.
Okusinzira ku police abantu ababiri bebasangiddwa nga bisiriiza era nga tebategeerekeka.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire agambye nti batandise okunoonyereza ekyavuddeko omuliro, ate emirambo gitwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago.#