Olukiiko oluteekateeka empaka z’emizannyo ez’ebika by’Abaganda lukakasizza emizannyo emipya egyongeddwa mu mpaka zino omwaka guno 2026.
Ebika bibadde bivuganya mu mupiira ogw’ebigere n’okubaka gyokka.
Kati ku mulundi guno ebika bigenda kuvuganya mu mizannyo okuli Omweso, ekigwo, Chess, Badminton, Scrabble, okuwuga, omupiira ogw’okubusaawe obutono, okusika omugwa ne Ludo.
Empaka z’ebika bya Baganda ez’omwaka guno zigenda kutandika nga 02 May, mu kisaawe e Wankulukuku.
Bw’abadde atongoza enteekateeka eno ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo minister w’abavubuka,emizannyo n’ebitone Owek.Robert Sserwanga Ssalongo
Agambye nti ebika ebineetaba mu mpaka byakwewandiisiza bwereere nga tebisasudde nnusu neemu.
Emmamba Nnamakaka yeegenda okuggulawo empaka ng’ezannya n’Engeye mu mupiira ogunaggyako abantu ekifu ku maaso ku ssaawa mwenda ez’emisana, ate ku ssaawa emu ey’akawungeezi Omusu guzannye n’Ente.
Emipiira gyombi egiggulawo empaka z’ebika by’Abaganda giriwo nga 02 May,2026, wabula ng’ebika byonna byakuyisa ebivvulu n’okukumba.#
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













