Government okuyita mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kulwanyisa mukenenya ekya Uganda Aids Commission eweerezza obupiira bu gali mpitawa obusoba mu bukadde 30 okwetoloola ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo, ngomu ku kawefube wokulwanyisa mukenenya mu biseera bino ebyennnaku enkulu.
Uganda Aids Commission egamba nti mu gandaalo lino, abantu bangi batera okwerabira obuvunanyizibwa bwabwe, olw’ebintu ebimu byebakozesa nebamaliriza nga bakwatiddwa obulwadde.
Dr.Daniel Byamukama, akulira ekitongole ekirwanyisa mukekenya mu Uganda Aids Commission, agamba nti ebifo ebigenda okuteekebwako essira kuliko amalwaliro, obutale, woteeri, lodge, newalala abantu webayinza okufuna obupiira nga tebakaluubiriziddwa.
Agambye nti kino kigendereddemu n’okukendeeza ku muwendo gw’abantu abapya abakwatibwa akawuka.
Enteekateeka eno yonna etambulira ku mulamwa ge’okulwanyisa siriimu, wegutuukira mu 2030 ng’afuuse lufumo.
Mu kiseera kinolo buli mwaka abantu emitwalo 52,000 mu Uganda bebakwatibwa akawuka.
Omwaka guno 2023 government yakagaba obukadde bwa condom 141.
Obuuma obukebeza abantu akawuka nabwo bwongedde okubunyisibwa mu bitundu ebyenjawulo.
Bisakiddwa: Ddungu Davis