President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni alagidde eggye ly’eggwanga erya UPDF lizuukuse era lisindiike abasirikale abakuuma byalo abamanyiddwanga Local Defence Unit ,LDU mu bitundu ebiriraanye ekuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth National park, okwanganga abattujju ba ADF.
Museveni asinzidde ku bulumbaganyi obwakoleddwa abantu abateberezebwa okubeera abattujju ba ADF mu kitundu kye Kyetehurizi mu district ye Kamwenge nebatta abantu 10.
Mu kiwandiiko president Museven ky’afulumizza agambye nti abatemu bano b’akabinja ka Njovu – Kamusu, ababadde baaddukira mu Democratic Republic of Congo, era nga be bamu abatta abalambuzi abazungu 2 ne munnauganda eyali abavuga mu kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth National Park.
Museveni agambye nti mu bulumbaganyi buno obwakoleddwa e Kamwenge, omuwala omuto oyasimattuse nti yeyalabudde ekyalo ku njega eno.
President era alagidde omubaka wa parliament omukyala owa district ye Kamwenge, nti akwatagane navunanyizibwa ku ntambuza yemirimu mu Maka gobwa president, bamutwaalire omwana oyo amulabeko era amwebaze
Museveni alagidde abasirikale ba LDU basindiikibwe ne mu bitundu okuli ekibira kye Kibaale, Kyenjojo, Semuliki National Park ne Bwindi National Park.
Museveni agambye nti engeri gyekiri nti abattujju bano, balumba bitundu ebyesudde ewala, government ye egenda kuddamu enkola yaayo eyedda, n’obukodyo bwayo obwedda obw’okwangangamu abalabe.
Museveni alagidde nti family zabagenze e 10 abattiddwa, amaka gobwa president zigawe amabugo.#