• Latest
  • Trending
  • All
Hellen Nakimuli abadde omubaka omukyala ow’e Kalangala aziikiddwa mu district ye Luweero

Hellen Nakimuli abadde omubaka omukyala ow’e Kalangala aziikiddwa mu district ye Luweero

April 23, 2026
Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we

Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we

May 15, 2026
Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala

Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala

May 15, 2026
Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo

Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo

May 15, 2026
Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco

Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco

May 14, 2026
Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

May 14, 2026
Okuddamu okulonda omubaka omukyala ow’e Kalangala – NUP emalirizza okukwata empapula z’abegwanyiza kaadi y’ekibiina

Okuddamu okulonda omubaka omukyala ow’e Kalangala – NUP emalirizza okukwata empapula z’abegwanyiza kaadi y’ekibiina

May 14, 2026
Omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe alondeddwa okufuuka Omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga

Omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe alondeddwa okufuuka Omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga

May 14, 2026
Katikkiro Mayiga yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumwesiga namukwasa Ddamula – ajaguzza emyaka 13

Katikkiro Mayiga yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumwesiga namukwasa Ddamula – ajaguzza emyaka 13

May 13, 2026
Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 batandise okukuba ebirayiro – bali 529

Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 batandise okukuba ebirayiro – bali 529

May 13, 2026
Mawokota ereese Richard Malinga ng’omutendesi omuggya – enoonya kikopo kyakuna mu mpaka z’amasaza 2026

Mawokota ereese Richard Malinga ng’omutendesi omuggya – enoonya kikopo kyakuna mu mpaka z’amasaza 2026

May 13, 2026
President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption

President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption

May 12, 2026
Yogaayoga Katikkiro Charles Peter Mayiga okuweza emyaka 13 ng’okuuma Ddamula

Yogaayoga Katikkiro Charles Peter Mayiga okuweza emyaka 13 ng’okuuma Ddamula

May 12, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Nature

Hellen Nakimuli abadde omubaka omukyala ow’e Kalangala aziikiddwa mu district ye Luweero

by Namubiru Juliet
April 23, 2026
in Nature
0 0
0
Hellen Nakimuli abadde omubaka omukyala ow’e Kalangala aziikiddwa mu district ye Luweero
0
SHARES
33
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Abadde omubaka wa parliament omukyala akiikirira district ye Kalangala Hellen Nakimuli aziikiddwa ku kyalo Kayunga mu gombolola ye Kalagala mu district ye Luweero.
Nakimuli yava mu bulamu bw’ensi nga 19 April,2026, ku myaka 40 egy’obukulu, oluvannyuma lw’okwetwala mu ddwaliro alongoosebwe mu lubuto mu ddwaliro lya Alexandra Medical Centre mu Kampala wabula teyadda ngulu.
Bannauganda mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo bakungubagidde Nakimera, era nga bamwogeddeko ng’omuntu akoze ennyo mu kidanja ekimu kyabadde yakamala mu parliament ng’akiikirira Kalangala.
Yayingira parliament mu kalulu ka 2021 ku bendera ya NUP, era nga baabadde bamwongedde ekisanja mu kalulu ka 2026 wabula tasobodde kulayira kuyingira parliament eye 12.
Nakimuli yasoose kusabirwa ku Eklesia ya Orthodox  e Namungoona, mu kusaba okwakulembeddwamu Ssaabasumba Jeronious Muzeeyi, wabula yatendewaliddwa amaziga negamuyitamu ng’abuulira, era awo weyakomye.
Yayogedde ku Nakimuli ng’akoleredde eklesia ya Orthodox, era nga yekka owa Orthodox eyabadde asigaddemu parliament, oluvannyuma lwa Theodore Ssekikubo abadde ekiseera ekiwanvu ng’akiikirira Lwemiyaga, okuwangulwa mu kalulu akayise aka 2026.
Fr.Walusimbi taata wa Hellen Nakimuli ne Mulekwa Melanie Namirimu nga baganzika ekimuli ku ssanduuko omugalamiziddwa Hellen Nakimuli abadde omubaka omukyala owe Kalangala
Rev. Father Christopher Walusimbi taata w’omugenzi era nga yaliko Kweba( omwami wa Kabaka akulembera Ssese)  asiimye abantu bonna abababeereddewo mu kaseera ak’okusomoozebwa, akubirizza abazadde okukuza abaana n’empisa nabasaba okuteeka mulekwa musaala.
Ku lw’Obwakabaka bwa Buganda, mu bubaka Katikiro bwattise minister owa Mawulire Israel Kazibwe Kitooke, busiimye nnyo Nakimuli olw’obuweereza bwe, n’okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka zonna.
Abakiikiridde Obwakabaka bwa Buganda mu kuziika Hellen Nakimuli
Katikkiro ayogedde ku Nakimuli ng’omukulembeze abadde Owembala, era omunyiikivu mu byabadde akola.

Amyuka sipiika wa Parliament Thomas Tayebwa yasiinzidde mu eklesia e Namungoona, naawanjagira bannabyabufuzi okukomya eby’obufuzi eby’obukyayi n’okusiiga enziro.

Agambye nti okufa kwa Nakimuli kugasse ebibiina by’obufuzi byonna mu ggwanga,  ekitegeeza abadde ayagala banansi nga bali bumu

Ababaka ba parliament bazze mu bungi okuziika Omubaka omukyala,Hellen Nakimuli abadde akiikirira Kalangala

Akulira oludda oluwabula government mu Parliament Joel Ssenyonyi asabye banna byabufuzi banne bulijjo okwogera ku nsonga eziruma bannansi, awatali kubatiiririra.

Abakulembeze be kibiina ki NUP nga bakulembeddwamu President wabwe ow’ekiseera Lina Zedriga, basoomoozezza ababaka ba Palamenti naddala abakyaala okutwaala Nakimuli nga eky’okulabirako mu nkola y’emirimu n’enneeyisa.
President  wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu ng’ayita mu ddoboozi erizanyiddwa eri abakungubazi, atenderezza Hellen Nakimuli  olw’enkolagana enungi n’abantu, obwesigwa, emirimu gyakoledde ekibiina kwossa n’abantu babadde akiikirira abe Kalangala, ate n’okusigala ku mulamwa gw’enkyukakyuka.
Band ya police yekulembeddemu okuwerekera Nakimuli, saako abawagizi ba NUP abasitudde ssanduuko omugalamiziddwa Hellen Nakimuli
Nga zikunukkiriza okuwera  essaawa kumi nabbiri, Nakimuli aziikiddwa, era bamukubidde emiziinga 3, ng’akabonero okussa ekitiibwa mu mirimu gye.#
Bisakiddwa Taaka Conslanta ne Lukenge Sharif
ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we
  • Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala
  • Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo
  • Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco
  • Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist