Omuntu omu atemeddwatemeddwa naafa ate abalala 3 bafunye ebisago eby’amaanyi, mu lutalo lw’ettaka ku kyalo Kibaale mu muluka gwe Kigumba mu ggombolola ye Maddu mu district ye Gomba.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa Police attiddwa ategerekese nti ayitibwa Paddy Sserunjogi amanyiddwa ennyo nga Sobbi, agambibwa okuba nga yabadde aggyiddwa mu kibuga Kampala, ng’abadde agenze kukuuna ttaka eririko enkaayana.
Kigambibwa nti ekibinja ky’abantu ekibagalidde amajambita, amagumu n’emiggo balumbye ekibinja ekirala bwebakaayanira ettaka, okukakkana nga Sobi attiddwa, ate abalala okuli Katumba Gerald, Mateka Andrew, ne Aliyu Dela baddusiddwa mu ddwaliro nga bali mu mbeera mbi.
Police etegeezezza nti byebaakafunawo biraga nti waliwo omusajja ayitibwa Kalisa eyagula ettaka lino eririko ebizibu ku bukadde bwa shs 100, mu 2007 n’asasulako obukadde 20, wabula nti abantu beyasasula ensimbi sibebaali bannyini ttaka abatuufu.
Abaana n’abazzukulu ba Kibi Paul abakulembeddwamu Deborah Nagadiya ne Kiwewa Barton nabo baaleeta ebyapa ebigambibwa okiba ebituufu ebiraga nti bebannyini ttaka era omusango nebagutwala mu bannamateeka.
Omwogezi wa police mu bitundu bya Katonda SP Majid Karim agambye nti batandise okunoonyereza engeri Sobi ne banne gyebaatwaliddwa e Gomba ku ttaka eririko enkaayana ekimuviiriddeko okufa.
Sobbi wafiiridde nga yali yewaako obujulizi nga bweyali omuzigu eyenyigiranga mu bubbi obw’engeri ez’enjawulo n’obumenyi bw’amateeka obulala.
Gyebuvuddeko yali yategeeza nga bweyali alokose okuva mu bikolwa ebyekko era eby’obulumi byeyali atuusizza ku bantu okumala ebbanga lya myaka 30.#