Amyuka omubaka wa government e Sembabule avudde mu mbeera nalagira police okutandiika okunoonyereza ku ddagala erigema ekirwadde kya Kalusu, eryaweerezebwa government ddoozi emitwalo 26,550 ku ngeri gyerwakozeseddwamu. Obulwadde bwa Kalusu...
Police mu Kampala n'emiriraano yakakwata abantu 4 abateeberezebwa okumenya era nebabba ebintu ku kigo kya Our Lady of Assumption-Mwereerwe Catholic Parish, ekisangibwa mu Gombe division Nansana Municipality mu Wakiso district....
Kooti enkulu e Mubende ewuniikiridde Taata ow'emyaka 29 bweyewaddeko obujulizi nga bw'abadde asobya ku mwana we ow'emyaka 6 gyokka egy'obukulu. Ssenkumba Daniel 29 omutuuze we Kyakatebe mu gombolola ye Nalutuntu...
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Myanzi ekisangibwa mu gombolola ye Myanzi mu district ye Kassanda, omutuuze bweyesibidde mu nnyumba n'agiteekera omuliro. Abatuuze bagamba nti entabwe evudde ku butakkaanya obubaddewo ne...
Abantu babiri abagambibwa okusangibwa n'amabaati 214 agabbibwa mu wofiisi ya Ssaabaminister, bagguddwako emisango 4 gyebagenda okutandika okuwerennemba nagyo mu kooti. Abakwate kuliko Rose Nassaka owemyaaka 45 ne Margret Musoke 46,...
Entambula esanyaladde ku luguudo oluva e Mityana okudda e Busunju ne Ssekanyonyi, olutindo olusangibwa ku kyalo Bbuye Kikumbi lubbomose tewakyali mmotoka yonna esala . Emmotoka ennene zikwamye era nga n'ezimu...
Ssaabalondoozi w'ebitabo bya government John Muwanga akubye ebituli mu nteekateeka ya wofiisi ya Ssabaminister eyokugulira abawejjere be Karamoja embuzi ez'olulyo. John Muwanga mu alipoota ye agambye nti embuzi ezaagulibwa zaali...
Eyaliko omubaka wa President mu district ezenjawulo era omuweereza ku Radio Uganda Hajji Abdul Nsereko afudde mu kiro. Hajji Abdul Nsereko, era ye taata w'Omubaka wa parliament owa Kampala Central...