Ssaabalondoozi w’ebitabo bya government John Muwanga akubye ebituli mu nteekateeka ya wofiisi ya Ssabaminister eyokugulira abawejjere be Karamoja embuzi ez’olulyo.
John Muwanga mu alipoota ye agambye nti embuzi ezaagulibwa zaali za mutindo gwakibogwe, zaalema okukulira mu mbeera ye Karamoja era nnyingi zaafa, ekyaviirako govrrnment okufiirwa ensimbi, n’abantu abaalina okuziganyulwamu nebafiirwa.
Waliwo n’embuzi 192 ezaali zirina okuweebwa abawejjere be Karamoja ezitalabikako era ezitaatuka mu kitundu ekyo, so ng’omugatte wofiisi ya ssaabaminister yasaasaanya obuwumbi bwa shs 25 okugula embuzi ez’olulyo, okukyusa obulamu bw’abantu be Kalamoja.
Bino birambikiddwa mu alipoota John Muwanga gyeyafulumizza eyomwaka gw’ebyensimbi 2022/2023 ekwata ku ntambuza y’emirimu mu bitongole bya government.
Mu nteekateeka eno, abantu abaalina okufuna embuzi zino, baalina okufuna buli omu embuzi 16, wabula mu kunoonyereza kweyakola yakizuula nti bangi embuzi ezo tebaaazifuna, abaafuna embuzi ezo abamu bafunako emu yokka
Ssaabalondoozi webitabo bya government John Muwanga agambye nti ku bantu 107 abaafuna ku mbuzi zino, 76 bebaanoonyerezebwako era yakakasa nti baafuna ku mbuzi zino, abalala 36 baamubula nti kigambibwa baali baasenguka okuva e Karamoja
Embuzi 934 baamugamba zaafa.
Okutwaaliza awamu embuzi 73,504 zezaagulibwa wabula nnyingi zaafa ate endala tezimanyiddwako mayitire, endala tezaagulibwa, wabula alipoota ziraga nti obuwumbi bwa shs 25 bwebwasaasaanyizibwa.
Alipoota eno ekwata ku mbuzi ezaali zirina okuweebwa abawejjere mu bitundu bye Kalamoja wefulumidde, nga n’ensonga z’amabaati agaalina okuweebwa abantu bebamu tenaggwa, era nga n’abamu ku ba minister n’abakungu ba government abagambibwa okwezibika amabaati ago bakyawerennemba mu mbuga z’amateeka. #