Omulamuzi Simon Mugyenyi Byabakama n’omumyuka we Hajjat Aisha M. Lubega Basajjannaku bazeemu okulondebwa ku kisanja ekirala okukulembera akakiiko k’ebyokulonda aka Uganda Electoral Commission of Uganda.
Akakiiko akakadde kubaddeko Omulamuzi Simon M.Byabakama, Hajjat Aisha M. Lubega Basajjannaku, Justine Ahabwe Mugabi, Stephen Tashobya, Nathaline Etomaru, Al-Haji Sebaggala M. Kigozi ne Emorut James Peter.
Ekisanja ky’akakiiko akakadde kyatandika 07 January,2017 kyaweddeko nga 07 January,2024.
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museven Byabakama amwongedde ekisanja kya myaka emirala 7, era ng’akakiiko ke kaliko ba memba abalala Hajati Aisha Lubega, Stephen Tashobya ababa bano babadde ne ku kakiiko akakadde.
Abapya abalondeddwa kuliko Robert Kibirige Ssebunnya eyali omubaka wa Nansana municipality, Anthony Okello, Dr.Sallie Simba Kayunga omusomesa ku Makerere University ne Pamela Etonu Okudi.
Akakiiko ka Electoral Commission of Uganda mu kisanja ekiyise, kategese okulonda kw’obukiiko bw’ebyalo mu july wa 2018, n’obukiiko bw’abakyala.
Okulonda kwa bonna okwa 2021 okwa president w’eggwanga, ababaka ba parliament n’abakulembeze ba government ez’ebitundu.
Mu kisanja kino ekya January 2017 ne January 2024 mubaddemu obululu bw’okuddamu okulonda ababaka aba parliament mu bifo 39, ba ssentebe ba district 12, n’okuddamu okulonda ku bifo by’abakulembeze ba government ez’ebitundu 762.#