Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Myanzi ekisangibwa mu gombolola ye Myanzi mu district ye Kassanda, omutuuze bweyesibidde mu nnyumba n’agiteekera omuliro.
Abatuuze bagamba nti entabwe evudde ku butakkaanya obubaddewo ne bakyala be ababiri babadde akuumira mu nnyumba eno.
Eyesse ategeerekeseeko erinnya limu erya Frank myaka 26 abadde avuga mmotoka ezetikka eby’amaguzi, nga kigambibwa nti abadde yawasa abakyala babiri n’abateeka mu nnyumba emu, wabula olw’okuba ng’abadde tasobola kubalabirira, kitaawe yamulagira abaleke badde gyebaava.
Ssentebe w’ekitundu Daudi Bukenya agambye nti bazze batuula mu nsonga z’amaka g’abantu bano, nga kitaawe wa Frank yatuuka n’okukwata ensimbi naaziwa omu ku bakyala naddayo ewabwe e Masaka gyeyali yava.
Bukenya agamba nti Frank mu kiseera weyettidde, era babadde bateekateeka kufuna nsimbi n’omukyala owokubiri agende.
Agambye nti olukiiko olubadde lusalawo ekiddako lubadde lutuula misana ga leero, wabula Frank talulinze neyeggya mu budde bw’ensi.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi.