Police mu Kampala n’emiriraano yakakwata abantu 4 abateeberezebwa okumenya era nebabba ebintu ku kigo kya Our Lady of Assumption-Mwereerwe Catholic Parish, ekisangibwa mu Gombe division Nansana Municipality mu Wakiso district.
Baanyaze ebintu eby’omuwendo ebibalirwamu obukadde bwa shs 13, saako okusalaasala ebyambalo by’Abasosolodooti n’okwonoona ebintu ebirala bingi.
Bwannamukulu w’ekigo kino Rev.Fr James Matovu anyonyodde bannamawulire ku byabiddwa mu Eklezia, kuliko Amplifier 1, Mixer 1, microphone receiver 1, Keyboard 1, microphones 4, bamenye ne bokisi ya Radio Maria be bokisi y’ekisibo n’okwonoona ebyambalo bya ba father.
Rev Fr Matovu akubiriza abavubuka okukola bafune ssente ezomukisa, era zebaneeyagaliramu mu kifo ky’okwemalira mu bubbi.
Bbo Abakristu mu Kigo kino nga bakulembeddwamu Francis Kasolo Walusimbi balaze obw’enyamivvu olweffujjo eryakoleddwa ku Kigo kyabwe.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti abantu abana abakwatiddwa bagenda kuyambako police okunoonyereza, era batwalibwe mu kooti bavunaanibwe.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo