Kooti enkulu e Mubende ewuniikiridde Taata ow’emyaka 29 bweyewaddeko obujulizi nga bw’abadde asobya ku mwana we ow’emyaka 6 gyokka egy’obukulu.
Ssenkumba Daniel 29 omutuuze we Kyakatebe mu gombolola ye Nalutuntu mu district ye Kassanda,akawangamulidde mu kooti enkulu e Mubende nti aludde nga yekakkatika ku muwala we ow’emyaka 6, okuva mukyala we lweyanoba.
Kaggwensonyi ssenkumba,anyonyodde kooti ekubiriziddwa omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe, nti emirundi gyonna gy’abadde asobya ku muwala we.ono abadde amukuutira obutabuulirako muntu yenna, era nga bwafuna n’ebiwundu mu bitundu bye ebyensonyi nti ng’amunyiga n’okumusaako eddagala erikaza
Wano omulamuzi justice Moses Kawumi Kazibwe wasinzidde namukaliga mu nkomyo yebakeyo emyaka 11, era nalabula abazadde okukomya omuze gw’okuganza abaana babwe naddala nga bakyala babwe banobye.
Bisakiddwa: Ssebuufu Baanabakintu Kironde