Abagambibwa okubeera ababbi bateekedde omuliro edduuka erisinga obunene neribengeya ku kyalo Masajja Kibira A mu gombolola ya Makindye Ssabagabo mu Wakiso district.
Kigambiba ababbi bano bazze bagezaako okumenya edduuka lino neribalemerera, kwekusalawo okulikumako omuliro.
Abatuuze bagamba nti police ezikiriza omuliro egenze okutuuka mu kiro ssaawa nga munaana, nga tebakyalina kyebasobola kutaasa.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif