Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye nate naawa abaami b’Amagombolola abaali bafikkidde pikipiki, okuddukanya obulungi emirimugye. Mu bubaka Nyini Nsi bwatisse Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga mu Bulange...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu butongole agguddewo omwoleso gwa Buganda Ggaggadde 2024. Asabye abantu mu Buganda ne Uganda, okwettanira okumanya n'Okuyiga ebintu ebipya, okugaziya okumanya kwabwe. Abawadde amagezi...
Obwakabaka bwa Buganda butongozza season eyokubiri eya Mmwanyi Terimba ey’Omwaka 2024, nebusaba government eyongere ensimbi mu buweereza Obwenjawulo mu Buganda, kuba yesinga okuvaamu Emmwaanyi ezitundibwa ku katale k’Ensi yonna. Katikkiro...
Obwakabaka bwa Buganda bukyazizza eyaliko president wa Nigeria Dr. Goodluck Jonathan, abutenderezza olw'okukwasizaako abantu baabwo mu nkulaakulana eya nnamaddala. Ayaniriziddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ku mbuga ya Buganda...
Nnaabagereka Sylvia Naginda atongozza ekisaakaate Gatonnya 2025, ekigenda okubumbujjira ku somero lya St.Janaan School Bombo Kalule. Ekisaakaate kino kya mulundi gwa 18, era nga kigenda kutambulira ku mulamwa ogugamba nti...
Radio ya CBS FM mu butongole esse omukago n’ekitongole kya government ekivunaanyizibwa kukuba ebiwandiiko ebitongole, ekya Uganda Printing and Publishing Corporation. Bakukolagana wamu okutuusa obuweereza mu ngeri ennyangu ku bantu...