Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu ministry yaabwo ey’eby’obulamu butegese olusiisira lw’ebyobulamu mu ssaza Kooki e Rakai, mwebajjanjabidde abantu abasoba mu 200 mwebajanjabiddwa endwadde omuli pulesa, Alusaazi , okusanyalala n’endala, abaddewo n’okugaba omusaayi.
Omugenyi omukulu munteekateekeno abadde minister wa Kabaka atwala ebyobulamu Owe’ Cotilda Nakate Kikomeko, asoose kusimba muti ng’akabonero k’okukuuma obutonde bw’ensi okutumbula obulamu obulungi, era alambudde n’eddwaliro lya Buganda eritambuzibwa eritwaliddwa mu kitundu ekyo. kossa okulambula eddwaliro lyobwa Kabaka eritambula eryaleteddwa mukifo kino.
Dr. David Muwonge omukwanaganya w’ebyobulamu mubwa Kabaka bwa Buganda ayanjulidde Minister ebikoleddwa mu lusiisira luno omuli okukungaanya omusaayi, okukebera n’okujjanjaba endwadde.
Bwabadde aggulawo olusiisira luno olugenda okumala ennaku satu nga bajanjaba abantu e Kooki, Owek. Nakate Kikomeko agambye nti Ssaabasajja Kabaka ataddewo enteekateeka nnyingi ezigenderera okukuumabantu be nga balamu, omuli okubasomesa okwewala endwadde, eddwaliro eritambuzibwa n’amalwaliro amalala agazimbiddwa mu bitundu ebyenjawulo.
Agambye nti mu kaweefube ono mwebasimbye okuwa obujanjaba abantu ba Beene, wabula najjukiza banna Kooki okwongera okwekuuma n’okwettaniranga amalwaliro okwekuuma nga balamu.
Owek.Nakate era asabye banna Rakai okwefubako nga bakola emirimo egivaamu ensimbi omuli okulima emmwanyi n’emirala basobole okutumbula embeera zabwe nga mwemuli n’okusomesa abaana.
Omukwanaganya wa Kabaka mussaza Kooki owek. Gertrude Nakalanzi Ssebuggwawo yeyanzizza omukisa ogubaweereddwa Ssaabasajja Kabaka mu kutumbula ebyobulamu.
Meeya wa Town Council ye Lwamaggwa Samuel Kaggwa agambye nti ebyobulamu mu gombolola ye Lwamaggwa bikyali wansi nnyo olwamalwaliro gaabwe okuba mu mbeera embi, ngate n’agasinga temuli ddagala n’asaba bekikwatako okubaako kyebakolawo.
Abamu kubanna Rakai abazze okukeberebwa endwadde ezitali zimu nga bakulembeddwamu Kassendwa Abbey bebaziza omutanda olwokubatusiza obujanjabi mukitundu kyabwe bwebabadde baludde okufuna olwebbula ly’ensimbi.
Wabula era bekokkodde embeera yamalwaliro gaabwe gebagambye nti batindigga eggendo okugatukamu kyokka oluusi nebatuukayo nga tewali ddagala.
MU ngeri yeemu bavumiridde entalo ezifumbekedde mu bakulembeZE e Kooki nti zikoze kyamanyi okukonzibya entambuza y’emirimu mu kitundu kyabwe.
Bisakiddwa : Ssozi Ssekimpi Lwazi