Kooti ya Kisekwa eyimirizza abadde Omukulu w’Ekika ky’Effumbe Walusimbi Yusuf Mbirozankya, ng’emulanga Kwewangamya n’Okweremeza mu Ntebe y’Obukulu bw’Ekika ky’Effumbe, ng’akimanyi bulungi nti tava mu lulyo lwa Kisitu Ntege Walusimbi omuva abalya obukulu bw’ekika ky’Effumbe.
Mu nsala eweereddwa leero na 28 Auust,2024, Kooti egambye nti Omutuba gwa Ssaabalangira Kasolo Yusuf Mbirozankya mwava tegulina kulya bwa Walusimbi, era ssi gwa Nnono ya Kika kya Ffumbe.
Kino kivudde ku nsala y’omusango ogwawaabwa Katikkiro w’e Ssiga lya Magunda, James Walusimbi Kisasa, n’abalala mu kkooti ya Kisekwa, nga bagamba nti Omutaka Yusuf Mbironzankya yalya Nsowole.
Ensala ya kooti ya Kisekwa ekulembeddwamu Kisekwa Joshua Mathew Kateregga, Omuwandiisi Omukulu Lubega Ssebende, Omuk. Jamil Ssewanyana , Omuk. Kasozi Deogratius , Omuk. Walusimbi Samuel ne Omuk Samuel Makeera.
Ensala eno esimbuliziddwa ku bujulizi obwaweebwa enjuyi zombiriri, okubadde Oluwaabi olukulembeddwamu Ssennoga Richard ne Walusimbi Fred, n’Oludda oluwawaabirwa olukulembeddwamu Omutaka Yusuf Mbirozankya.
Oludda Oluwaabi lubadde lulumiriza nti bukyanga kuwulira musango guno kwatandika nga 16.5.2018, obujulizi obulaga nti Walusimbi Mbirozankya yewangamya mu Ntebe y’Obukulu bw’Ekika bubadde bweraga lwatu.
Oludda oluwaabi lwategeeza nti Omutuba gwa Ssabalangira Kasolo tegusibuka mu Masiga 3 agakola ekika ky’Effumbe , okuli erya Nagaya, Magunda ne Ssempala.
Oludda oluwaabi era lulumirizza nti Omutuba gwa Ssabalangira Walusimbi Mbirozankya mwava gwagunjibwawo bazzukulu ba Kigumba Makubuya , Oluvannyuma lw’Okuwamba Entebe y’Akasolya k’Ekika ky’Effumbe , era nti Omutuba Ogwo bazzukulu ba Makubuya mwebabadde bayita okulya Obwa Walusimbi.
Obujulizi obwenjawulo kwesinzidde okuwa ensala yaayo bulaga nti Ekika kye Ffumbe kimaze emyaka 1000 nga kitambulira mu bukulembeze obutali butuufu.
Oludda oluwawaabirwa Kooti y’Eddiiro eruwadde gaabuwa lujulire mu bbanga lya nnaku 30 eri Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Ben Kasolo akulira Omutuba gwa Musala Enyooka , ategeezezza nti ensala ya Kooti tesaanye kuleka bazzukulu ba Walusimbi nga beyuzizzaamu, nabasaba bakuume Obumu.
Bisakiddwa: Kato Denis