Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye nate naawa abaami b’Amagombolola abaali bafikkidde pikipiki, okuddukanya obulungi emirimugye.
Mu bubaka Nyini Nsi bwatisse Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mengo, Ssaabasajja alagidde abaami abafunye pikipiki empya okuzikozesa obulungi balwaanyise Mukenenya, n’Okukunga abantube okukola ennyo beggye mu bwavu.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu bubakabwe, ategeezezza nti abaami bonna abaweereddwa pikipiki beebo 80 abaali baafikkira ku mulundi ogwasooka.
Abaami ba Ssaabasajja Kabaka ab’abasoba mu 200 okutwalira awamu bebaakafuna pikipiki.
Aabafunye pikipiki olwaleero basuubizza nti baakukola obutaweera okutuusa obuweereza eri abantu ba Beene, baganyulwe mu ntekateeka z’Obwakabaka ez’Enkulaakulana.
Mayanja Moses ku lwa kampuni ya Ssimba Automotives Limited ekolaganye n’Obwakabaka okutuusa pikipiki ku baami ba Ssaabasajja, yeeyamye okunyweeza enkolagana eno, era neyeebaza Obwakabaka.
Bisakiddwa: Kato Denis