Obwakabaka bwa Buganda butongozza season eyokubiri eya Mmwanyi Terimba ey’Omwaka 2024, nebusaba government eyongere ensimbi mu buweereza Obwenjawulo mu Buganda, kuba yesinga okuvaamu Emmwaanyi ezitundibwa ku katale k’Ensi yonna.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agitoongolezza mu ssaza Mawokota.
Alaambudde abalimi b’emmwanyi n’okulondoola abagattako Omutindo mu ssaza Mawokota.
Katikkiro agambye nti emmwanyii eziva mu Buganda zeyongedde, era ensimbi nnyingi government zeyingiza okuva mu mmwanyi, n’olwekyo zisaanye zikole ku bintu ebizimba Buganda ereme kulyazaamanyizibwa, omuli okukola enguudo ennungi, Amalwaliro, Amasomero n’Obuweereza Obulala.
Katikkiro yeebazizza abakulembeze ku mitendera egyenjawulo mu Bwakabaka, mu government eyawakati kko ne bannaddiini, abakoze ogw’okukunga abantu ba Kabaka okulima Emwaanyi nebava mu bwavu.
Era asabye ababaka ba parliament okukwasizaako abantu okwekulaakulanya, nabalabula ku kumalira ebiseera mu parliament mu kukola ebitaggya nsa, nebalema okukola ebigasa bannansi bonna.
Minister w’Obyobulimi , Obulunzi , Obuvubi ,Obutale n’Obweegassi Owek Haji Hamis Kakomo ,asabye abantu ba Kabaka abalina Emwaanyi okukuuma Omutindo, n’Obutaabulira bwegassi.
Omwaami wa Kabaka akulembera essaza Mawokota, Kayima Sarah Nannono Kaweesi, ategeezezza nti ku bungi bw’emmwaanyi eziva mu bantu ba Kabaka e Mawokota , bagenda kwongera ku nsimbi ezireetebwa mu Luwalo, n’okwenyigira mu mirimu gy’enkulaakulana ez’enjawulo.
Ababaka abakiikirira ebitundu bya Mawokota mu parliament, Hillary Kiyaga owa Mawokota North ne Teddy Nambooze akiikirira district ye Mpigi, bebazizza Katikkiro olw’Okukola obutaweera okukubiriza abantu okulima Emmwaanyi nebava mu bwavu, mungeri eyenjawulo nebeemulugunya ku kibba ttaka ekyeyongedde mu Mawokota.
Kasigi Amos akulira Ekyuma ky’Emmwaanyi ki The Edge trading limited ekisunsula Emmwaanyi, okuzigattako Omutindo n’Okuzitunda ebweru w’eggwanga , yeeyamye okukwasizaako Obwakabaka, ng’atuusa endokwa z’Emwaanyi ez’Embala eri abantu ba Beene, n’Okubawa obukugu obwenjawulo ku nnima eyomulembe.
Abalimi b’Emwaanyi abalambuddwa Katikkiro, okubadde Dr Lawrence Mulindwa, Pius Muganga ne Ssemugera Steven, beeyanzizza Ssaabasajja Kabaka, olwobutakoowa kulagira bantube kukola, era beeyamye okusigala nga babunyisa enjiri y’Emmwaanyi terimba, n’Okwongera okuzaagazisa abavubuka okuzirima.
Bisakiddwa: Kato Denis