• Latest
  • Trending
  • All
CBS FM esse omukago n’ekitongole kya UPPC ekifulumya ebiwandiiko ebitongole mu Uganda

CBS FM esse omukago n’ekitongole kya UPPC ekifulumya ebiwandiiko ebitongole mu Uganda

August 7, 2024
Abakuuma ddembe bazinzeeko amaka ga Annet Anitah Among abadde sipiika wa parliament eye 11 – ateeberezebwa okwenyigira mu bulyake n’obukenuzi

Abakuuma ddembe bazinzeeko amaka ga Annet Anitah Among abadde sipiika wa parliament eye 11 – ateeberezebwa okwenyigira mu bulyake n’obukenuzi

May 16, 2026
Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we

Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we

May 15, 2026
Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala

Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala

May 15, 2026
Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo

Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo

May 15, 2026
Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco

Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco

May 14, 2026
Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

May 14, 2026
Okuddamu okulonda omubaka omukyala ow’e Kalangala – NUP emalirizza okukwata empapula z’abegwanyiza kaadi y’ekibiina

Okuddamu okulonda omubaka omukyala ow’e Kalangala – NUP emalirizza okukwata empapula z’abegwanyiza kaadi y’ekibiina

May 14, 2026
Omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe alondeddwa okufuuka Omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga

Omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe alondeddwa okufuuka Omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga

May 14, 2026
Katikkiro Mayiga yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumwesiga namukwasa Ddamula – ajaguzza emyaka 13

Katikkiro Mayiga yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumwesiga namukwasa Ddamula – ajaguzza emyaka 13

May 13, 2026
Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 batandise okukuba ebirayiro – bali 529

Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 batandise okukuba ebirayiro – bali 529

May 13, 2026
Mawokota ereese Richard Malinga ng’omutendesi omuggya – enoonya kikopo kyakuna mu mpaka z’amasaza 2026

Mawokota ereese Richard Malinga ng’omutendesi omuggya – enoonya kikopo kyakuna mu mpaka z’amasaza 2026

May 13, 2026
President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption

President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption

May 12, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

CBS FM esse omukago n’ekitongole kya UPPC ekifulumya ebiwandiiko ebitongole mu Uganda

by Namubiru Juliet
August 7, 2024
in Amawulire, BUGANDA
0 0
0
CBS FM esse omukago n’ekitongole kya UPPC ekifulumya ebiwandiiko ebitongole mu Uganda
0
SHARES
190
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Radio ya CBS FM mu butongole esse omukago n’ekitongole kya government ekivunaanyizibwa kukuba ebiwandiiko ebitongole, ekya Uganda Printing and Publishing Corporation.

Bakukolagana wamu okutuusa obuweereza mu ngeri ennyangu ku bantu ba Buganda ne Uganda yonna okutwalira awamu.

Omukago guno gutunuuliddwa ng’ekimu ku bibala bya CBS amangu ddala nga kyejje eddizibwe license yaayo gyemaze emyaka 14 nga terina.

Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe y’atadde omukono ku ndagaano eno ku lwa Radio ya Kabaka, ate Mwami Joachim Buwembo ssentebe wa UPPC n’assaako ku lw’ekitongole ekyo.

Emikono giteereddwako mu Bulange e Mmengo mu maaso g’omumyuka awookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owe. Robert Waggwa Nsibirwa.

Owek. Robert Waggwa Nsibirwa  ayozaayozezza CBS olw’okuddizibwa license yaayo, era neyeebaza abakulu mu UCC abaakoze omulimu guno, kyagambye nti kino kigguddewo emikisa nkumu eri Radio ya Kabaka era kigenda kigiyamba okwegazaanyiza obulungi mu kisaawe ky’ebyempuliziganya.

Yeebazizza nnyo aba UPPC okulondawo okukolagana ne CBS kubanga ye Radio esinga okuwulirizibwa era eyeesigika mu Buganda ne Uganda okutwalira awamu.

Abakuutidde okukwatagana obulungi bakozese buli mukisa CBS gwerina oguleeta abantu awamu nabo okubasomesa ebikwata ku kitongole kyabwe.

Agambye nti CBS tekoma ku mawulire gokka, wabula erina n’engeri endala nkumu zeekozesa okutuusa obubaka ku bantu mu mbeera esaanidde ate eyeesigika.

Owek. Nsibirwa agambye nti Buganda ekungaanyizibwamu omusolo ebitundu 70% ekitegeeza nti n’akatale weekali kale nga kya nsonga nnyo okukolagana n’ebitongole bya Buganda kubanga birina abantu.

Ku lwa Buganda, Owek. Nsibirwa asuubizza okuwagira omukago guno mu mbeera zonna.

Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe agambye nti bagenda kukozesa omukago guno okumanyisa banna Uganda ebingi ebikolebwa mu Uganda Printing and Publishing Corporation kubanga bannansi bangi tebabimanyi.

Mu mbeera yeemu Omuk. Kawooya akoowodde ebitongole ebirala okuva mu government eyaawakati n’ebweru w’eggwanga okweyuna CBS batambulire wamu naddala kati nga terina kakwakkulizo konna kagiremesa kukolagana na kitongole kyonna, ekibadde ekizibu ennyo nga terina license.

Agambye nti mu kiseera radio wetabeeredde na license esubiddwa business nnyingi okuva mu kampuni n’ebitongole ebitali bimu.

Kawooya agumizza aba UPPC nti tebasaana kubuusabuusa mu nkolagana eno, nti  kubanga eggumidde bulungi, era yakutambuzibwa butereevu ku Radio ez’okumpewo okuli 88.8 ne 89.2 ate wamu n’emikutu gyayo egy’omutimbagano.

Ssentebe wa UPPC Joachim Buwembo agambye nti balina essuubi ddene nnyo okuganyulwa mu nkolagana eno kubanga bonna baweereza abantu bebamu.

Agambye nti era omukago guno tegulina kkomo, nga gwakuyamba nnyo mu nteekateeka y’okwanguyizaako bannansi okutegeera ebiwandiiko bya government ebitongole,  kubanga baakubitaputa mu nnimi ezitegeerwa bannansi oluvannyuma lw’okukizuula nti Olungereza bangi tebalutegeera bulungi.

Awanjagidde banna Uganda okufaayo ennyo okuwandiisa ebintu byabwe byonna bikakasibwe mu mateeka era bifulumizibwe mu Kyapa kya government ekitongole Gazette.

Ategeezazza nti ekyabalonzaawo okukolagana ne CBS, bakizuula nti yeesigika mu bantu bonna era buli kyekwatako tekidda mabega.

Omukolo guno gwetabyeko Owek. Noah Kiyimba minister w’Olukiiko, Kabineti, Abagenyi n’emirimu egy’enkiizo mu Office ya Katikkiro ng’ono abaddewo ku lwa minister w’Amawulire Owek. Israel Kazibwe, akulira eby’amateeka mu CBS Vivian Namale, akulira eby’ensimbi Christopher Bajjabayira, akulira bakitunzi Samson Nyatia ate n’abalala abawerekedde ku ssentebe wa UPPC.

Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Abakuuma ddembe bazinzeeko amaka ga Annet Anitah Among abadde sipiika wa parliament eye 11 – ateeberezebwa okwenyigira mu bulyake n’obukenuzi
  • Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we
  • Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala
  • Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo
  • Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist