Obwakabaka bwa Buganda buli mu kiyongobero olw’okufa kw’omutaka w’ekika ky’Empologoma Omutaka Ssebuganda Namuguzi Ndawula Wilson.
Minister wa Buganda ow’ebyamawulire Owek. Israel Kazibwe Kitooke abikidde Obuganda, n’ategeeza nti enteekateeka z’okuziika Omutaka zakulangirirwa oluvannyuma.