Obwakabaka bwa Buganda bukyazizza eyaliko president wa Nigeria Dr. Goodluck Jonathan, abutenderezza olw’okukwasizaako abantu baabwo mu nkulaakulana eya nnamaddala.
Ayaniriziddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ku mbuga ya Buganda enkulu Bulange Mengo.
DR Goodluck Jonathan azze n’Omukulembeze ow’Ennono ow’Obwakabaka bwa Binin, King Amalate .J .Turner n’abantu abalala abawerako bebazzr nabo.
Olulyo Olulangira lukiikiriddwa Omulangira Felix Muteesa, Omumbejja Dinah Kigga,n’Omumbejja Sarah Katrina Ssangalyambogo.
Omumyuka owokubiri owa Katikkiro wa Buganda Owek Robert Wagwa Nsibirwa, omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwagga Mugumbule,Owek David Mpanga, Owek.Amis Kakomo, Owek Noah Kiyimba, nabebitiibwa abalala betabye mu nsisinkano eno.
President wa Nigeria eyawummula Dr.Goodluck Jonathan yeebazizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’obukulembeze obulungi eri Abantube, era n’asuubiza nti Omutanda bw’alisiima wakudda amulabeko.
President Dr Goodluck Jonathan mungeri yeemu agambye nti waakudda mu Buganda yeetegereze emikisa gy’Okusiga ensimbi mu by’Obulimi, nti kubanga azudde nti ettaka lya Uganda Ddungi ebitagambika.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza nti Ssemazinga wa Africa akyalina okusomoozebwa kw’obukulembeze obutali bulungamu, nga kino kiva ku bakulembeze okwewala abakulembeze b’Ennono.
Omumyuka owokubiri owa Katikkiro wa Buganda Owek Robert Wagwa Nsibirwa,alambululidde abagenyi ba Ssaabasajja, emikisa enjolo egiri mu kusiga ensimbi mu Bwakabaka, omuli Ebyenjigiriza, Ebyobulambuzi, Amakolero n’ensonga endala nnyingi.
Bisakiddwa: Kato Denis