Obwakabaka bwa Buganda bukubirizza Abayizi ku mitendera egyenjawulo okwekuuma nga balamu bulungi, basobole okukola eby ebinaabagasa gye bujja era ebitwala Buganda mu maaso. Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abafalaasidde...
Obwakabaka bwa Buganda butongozza Ambulance ezigenda okukozesebwa mu misinde gy'amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka eginaddukibwa ku Ssande nga 12 Kafuumuulampawu (April),2026 mu Lubiri e Mmengo. Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naaweereza abantu be obubaka bw'Amazuukira ga Yesu Kristu obwa 2026. Beene asabye olunaku luno lujjukize buli muntu omukwano n'obusaasizi Katonda by'alina eri abantu...
Olusirika lw'abakulembeze ba Buganda olw'omwaka 2026 luyindira ku Muteesa I Royal University e Kakeeka Mengo. Essira ly'omwaka guno liteekeddwa ku nteekateeka eya 'Situla omutindo', eyatongozebwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asisinkanye ba ssenkulu b'ebitongole bya Buganda mu nsisinkano yabwe eya buli mwaka, okubalambika ku ntambuza y'emirimu. Babadde ku kitebe ky'ebyobulambuzi mu Buganda e Mengo....
Abayizi mu masomero n’amatendekero ga Buganda nga geegattiddwako amasomero ag'obwannannyini banywanyi ga Buganda bakiise embuga mu nkola ya Luwalo Lwaffe (Tondeka mu Luwalo) n’ettu ly'ensimbi obukadde bwa shs 92 n’omusobyo....
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde wabeewo empuliziganya eya nnamaddala wakati wa Bannabyabuifuzi abassiddwamu Obwesige nebalondebwa mu kalulu akaakaggwa aka 2026, okukola ebintu eby'ensonga ku lw’Enkulaakulana ya Uganda eya...
Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza omuyungagano (Link) ogugenda okweyambisibwa banna Uganda okusonderako ensimbi z’okuzimba ekifo awanaakyusizibwanga obusomyo mu balwadde ba Nnalubiri. Enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe Bank y’ebyobusuubuzi ey’eggwanga; Pearl Bank...