Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alambula ku ttaka lye e Jjeza mu ssaza Mawokota mu district ye Mpigi, liwezaako obwagaagavu bwa Yiika 402.
Ettaka lino libadde litandise okusenzebwako abasaatuusi.
Liri ku Block 18, Plot 23 nga lya Bwakabaka bwa Buganda.
Obwakabaka bulina enteekateeka y’okulissaako ekibangirizi kya bannamakolero.
Libadde lyassibwako obupande obulabula abantu obuteesenzaako wadde okugulako ku muntu yenna, naye waliwo abantu ababadde bazimbyeko ennyumba 4, ne ppoloti ensaleesale 50 n’ekigendererwa ky’okuzitunda, n’omusiri gwa kasooli.
Omuteregga mu kulambula ettaka lino awerekeddwako Omulangira David Kintu Wassajja, Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika, bannamateeka ba Buganda n’abakungu ba Buganda Land Board abakulembeddwamu Munnamateeka Denis Bugaya.#













