Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll alagidde abantube okwongera obuyiiya n’okutema empenda okuyimirizaawo emirimu gye Kitongole kye ki Kabaka Foundation.
Obubaka bwa Kabaka abutisse Owek Makubuya Ssenoga Fred Omubaka wa Kabaka mu ssaza lya Southern California, ku mukolo ogw’okujaguza bwejiweze emyaka 30 bukyanga Kabaka Foundation kitandikibwawo.
Omukolo gubadde ku Odyssey Hotel mu California.
Mu ngeri yeemu Kabaka asiimye abantu bonna abakoze ekisoboka okutambuza emirimu gyekitongole nga batuusa obuwereza obwenjawulo ku bantu be, omuli eby’obulamu, ebyenjigiriza, amazzi amayonjo,eby’obulimi n’ebirala.

Akulira ekitongole kya Kabaka Foundation ettabi lye California USA, omukungu Prossy Musoke aweze obutatiiririra Kabaka mu nkola ey’emirimu.

Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omukungu Edward Kaggwa Ndagala agamba nti mu kisera kino batambula mu masaza agenjawulo emitala w’amayanja okulaga abantu ba Kabaka ebituukiddwako ekitongole ne nteekateeka ezenjawulo ekitongole kyezirina .#
Bisakiddwa: Nakato Janefer













