Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga Owek Charles Peter Mayiga akyaddeko ku kitebe kya Uganda mu German ekikulemberwa Omubaka Steven Mubiru n’Omumyukawe Danny Ssozi mu kibuga Berlin, nebogeraganya ku ngeri enkolagana eriwo gyeganyudde Uganda.
Yebazizza government ya German olw’Obuvujjirizi obwenjawulo eri Uganda ne Buganda, obwetoloolera ku nkulaakulana y’Abantu mu byenfuna, Eby’obulamu,eby’obulimi n’Eddembe ly’Obuntu.
Asabye ekitebe kya Uganda mu German okwongera okusaggula akatale k’emmwanyi mu German, kubanga yeemu ku zisiinga kkugula emmwanyi za Uganda.
Katikkiro asabye nti Eby’obuwangwa bisaanye biweebwe enkizo, mu nteekateeka y’Okusitula eby’Obulambuzi wakati wa Uganda n’amawanga amalala.
Akinogaanyizza nti eby’obulambuzi tebisaanye kukoma ku Nsozi , Amazike n’ebintu ebirala, wabula abalambuzi balina okumanya obuvo bw’Abantu abenjawulo mu Uganda n’enneeyisa yabwe.
Kamalabyonna era jjukizza bazzukulu ba Nambi mu ssaza lya Kabaka Rhinelands obuteerabira kusiga Nsimbi ku Mawanga gyebali, kubanga kibawa enkizo okugobolola amangu, wabula ng’essira balina okuliteeka kukusiga ku butaka.
Abajjukiza nti basaanye okumanya nti ne ku Butaka eriyo enteekateeka nnyingi ez’okusiga ensimbi, naabasaba okwettanira entekateeka ya Ssemunywa ey’Amayumba agatali gabuseere.
Ambasador Mubiru Steven ng’asibuka Busoga , yebazizza Katikkiro n’Obwakabaka bwonna olw’Enkulaakulana etukiddwako mu Buganda ne Uganda, eyeesigamiziddwa ennyo ku Busuubuzi , Obulimi n’Ebyenjigiriza.
Agambye nti German eriko abaana ba Uganda abawera bewadde sikaala nebasoma, okuyita mu kitongole ki GIZ.
Minister wa gavumenti ez’ebitundu Owek Joseph Kawuki ategeezezza nti abantu ba Kabaka mu Rhinelands bakuumye Obumu, era ng’abavubuka bebakyasinze okwenyigira mu buli nteekateeka.
Katikkiro awerekeddwako Ababaka ba Kabaka mu Bulaaya okuli Owek Samuel Ssekajugo Musoke, owe Rhinelands, Owek Geoffrey Kibuuka akulembera abantu ba Kabaka e Bungereza.
Abalala kubaddeko Owek Nelson Mugenyi owe Sweden/Scandinavia, wamu n’Abamyuuka b’Abaami b’Amasaza okubadde Lindah Ssekayita, Jenet Nabatta Mukiibi, Dr. Grace Sseruyange ne Owek Ronald Mpangi.
Olugendo lwa Katikkiro yagenze kwetaba mu Ttabamiruka wa Buganda Bumu European Convention (BBECO) ow’omulundi ogwokubiri, agenda kuyindira mu Gloria Events Hall mu kibuga Berlin.
Ttabamiruka eyasooka yali mu North London.#













