Katikkiro Charles Peter Mayiga abadde akomekereza enteekateeka ya mmwanyi terimba mu ssaza Busujju,gyalambudde abalimi abenjawulo n’emmerezo z’emmwanyi.
Katikkiro aggaddewo omwoleso gw’obulimi obulunzi obutale n’obwegassi ogwategekeddwa obwakabaka okukuza olunaku lw’ebyobulimi n’obwegassi ogubadde ku gombolola e Maanyi.
Katikkiro asabye abantu okuggya ekyejo mu mulimu gw’okulima emmwaanyi nti kuba kkubo ddene erigenda okukyusa embeera z’abantu ba Kabaka n’okuyambako okuzza Buganda kuntikko.
Minister webyobulimi obulunzi obutale n’obwegassi Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo asabye abantu obutetundako ttaka ate n’okukuuma ebibira okuzaawo obutonde bwensi.
Minister omubeezi ow’ebyobulimi Hajji Hamis Kakomo agambye nti munteekateeka ya mwanyi terimba waliwo okugenda mu maaso era mu myaka 6 emmwaanyi eziva mu Buganda zeyongedde ebintu 35%.
Omwami we ssaza Busujju, Kasujju Mark Jjingo Kaberenge II, yebazizaza Katikkiro olw’enteekateeka zonna ez’okusitula abantu ba Buganda era abe Busujju baziganyuddwamu byansuso.
Abamu ku balimi Katikkiro balambudde nga bakulembeddwamu Mujabi Christopher,basabye bavubuka banabwe obutanyooma kulima naddala okw’emmwanyi.
Ku lwa Bucadef, member wa boodi Sawulo Kaye Luwandagga, agambye nti bakoze buli ekisoboka okusembereza abantu enteekateeka z’obyobulimi era nga batandise ne kunteekateeka ya
Omubaka omukyala owa Mityana, Joyce Bagala ne ssentebe wa district ye Mityana Nsyimye Patrick Mugisha beyamye okuwagira enteekateeka zonna ez’obwakabaka kuba zonna zigenderera kuzimba bantu ba Kabaka.
Ba minister okuva e Mengo nga bakulembedwamu omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Muggumbule nabalala, abaami bamasaza Katambala, Kayima, Mukwenda ne Kaggo betabye munteekateeka eno.