Olukiiko oluddukanya liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, lukakasiza nti omupiira wakati wa club ya URA ng’ettunka ne KCCA gugenda kuzannyibwa mu kisaawe e Wankulukuku so ssi mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso.
Mungeri yeemu akakiiko kano kakasiza nti omupiira guno gugenda kuzannyibwa ku Saturday nga 11 May,2024, sso ssi ku Friday nga 10 May, nga bwekyali kirambikiddwa mu kusooka, olw’okugondera enteekateeka eyókubala Bannayuganda etandika enkya ku Friday nga 10 May,2024 okutuuka nga 19 May,2024.
Omupiira guno URA egenda kugukyaliza mu kisaawe e Wankulukuku olw’okuba ekisaawe kya Kabaka kyabaggu kye babadde balina okukyalizaamu omupiira guno, ate nakyo kijja kubaamu omupiira wakati wa Wakiso Giants ng’ettunka ne Mbarara City.
Omupiira ogwasooka mu kisaawe e Lugogo, KCCA yawangula URA ku goolo 3-2.
Uganda Premier League era ekakasiza nti nga 13 May,2024. Express mukwano gw’abangi lwégenda okuzannya omupiira gwayo ogwasigalira ne club ya NEC.
Omupiira wakati wa Gaddafi ne Express gwakuzannyibwa nga 15 era omwezi guno ogwa May.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe