President wa Uganda Yoweri Kaguta Museven asisinkanye abasuubuzi abavudde mu bitundu bya Uganda, abakungaanidde ku kisaawe ky’e Kololo, nebogera ku nsonga ez’enjawulo ezikwata ku busuubuzi mu ggwanga, abasomesezza ku nsasula y’emisolo egyenjawulo n’engeri gyejiganyula eggwanga.
Abawadde amagezi okudda mu busuubuzi bw’ebyamaguzi ebikolebwa wano mu Uganda byagambye nti tebisasulibwa misolo naddala ebiva mu by’obulimi, nti so nga n’ebimu ebigusasulibwa omusolo ogwo gubeera wansi.
Abategeezezza nti obusuubuzi obukwata ku bintu ebikolebwa wano mu Uganda bwamugaso nnyo eri enkulaakulana y’eggwanga okusinga ebiva mu mawanga amalala.
President Museven agambye nti abantu abasuubuzi abatunda eby’amaguzi ebiva mu nsi endala babeera bapakasi b’amawanga gyebaggya ebintu, n’olwekyo balina okugumira emisolo egibiteekebwako.
Mu ngeri yeemu President Museven alagidde ekitongole ekisolooza omusolo kigende mu maaso n’enkola ya EFRIS, wabula ekyuse mu nkola gy’ebadde eyitamu okugiteekesa mu nkola.’
Agambye nti ebyuma ebikozesebwa ebyasooka okubakakatibwako ebikusibwe abasobola okubikozesa n’okubigula babigule, abatasobola bakozesa enkola endala ey’essimu etali yabuseere.
Agambye nti abantu basobola okugula printer entonotono eyomungalo gy’ogatta ku ssimu okufulumya receipt eziyita ku nkola ya EFRIS.
President Museven abategeezezza nti abantu bagule essimu ez’ebbeeyi entonotono mu kifo ky’okugula ekyuma ekya EFRIS ekigula shs obukadde 6.
Mu ngeri yeemu, president ayambalidde bannaugamba abakimussaako nti atiitibya ba musiga nsimbi abagwira okusinga bannauganda, agambye nti byeboogera ssibituufu nti kubanga mu kibangirizi kya bannamakolero ekye Namanve waliyo amakomero 450 aga bamusiga nsimbi, nga ku gano kuliko 315 ga bannauganda abaasalirwako ku misoso gy’okugatandika nga bweguli ku bamusiga nsimbi abalala.
Abasuubuzi abaasoose okubeera abasanyufu nga president Museven agenda okwogerako gyebali, bagenze bawotoka mpolampola, gyebigweredde nga n’abamu batandise okufuluma omu kwomu ng’ennyindo y’enkata.
President Museven atuuse n’okubakomako nyi bakkakane era baleme kumutiisatiisa, nga buteerere.