EKibiina ekitaba bannamateeka abakyala ki FIDA, kyagala endagaano ekwata ku kwettika embuto z’abaana mu nkola ey’obupangise, etaputibwe mu nnimi enzaalirwanwa buli munnansi egitegeere bulungi.
Abakulembeze mu kibiina kino ekya FIDA ensonga eno bajanjudde mu kakiiko ka parliament akalondoola ebyobulamu, akekeneenya ebbago lyeteeka eryanjulwa omubaka omukyala owa district ye Tororo Sarah Opendi erikwaata ku nkola y’okwettika embuto zabaana mu nkola empangise.
Ebbago ly’etteeka lino omubaka ono Sarah Opendi lyeyatuuma Human Assisted Reproductive Technology Bill 2023, ligendereddwamu okulungamya abantu abagala okuzaala abaana wabula ng’abantu ababetikkira embuto balala mu nkola emanyiddwanga Surrogacy.
Mu bbago lino, Omubaka ayagala muteekebweemu endagaano enakolebwanga wakati wooyo ayagala okumweettikira olubuto nooyo agenda okulwettika, buli omu ateeke omukono ku ndagaano eyo nga agitegedde bulungi nebigirimu, okwewala ennyombo n’okusika omuguwa okuyinza okubaawo singa enjuyi zombi ziremwa okukaanya,
Elizabeth Kemigisha munnamateeka mu kibiina kya FIDA agambye nti abantu bangi abatamanyi kussoma luzungu, kale nti singa endagaano eyogerwaako mu bbago lino, erekebwa mu lulimi lumu oluzungu, eyolekedde okuviirako bannansi abamu obuzibu.
Agambye nti bangi kwaabo abaasoma abalina ensimbi bandidyeekadyeeka abatamanyi luzungu nebabakozesa ensobi oba oluusi n’okubanyigiriza nga bayita mu nkola y’okubeettikira embuto.
FIDA era eyagala etteeka lino, lugaziyizibwe eri buli muntu ayagala okufuna omwaana wabula nga muntu mulala yamwetikkidde olubuto, lireme kuzingizibwa ku bakyaala bokka abatazaala, nabantu abalala abalina obusobozi okusasulira abalala babeetikkire embuto bakkirizibwe okufuna abaana.
Ebbago lyetteeka lino nga bweriri mu kiseera kino, lyazingizibwa ku bantu okuli abakyaala abagumba, abalina endwadde oba obulemu obutasobozesa kwettika mbuto z’abaana wabula nga bandyetaaze okubeera abazadde.#